Amawulire

Ab’Oluganda babiri bagudde mu mugga.

Police mu district ye Madi –Okolo etandise okunoonyereza ku ngeri ab’Oluganda babiri gyebaagudde mu R.Nile nebafiiramu.

Widonga Samuel owemyaka 32, ne Pirwoth Felix owemyaka 28 nga bavubi , babadde batuuze ku kyalo Owavu mu gombolola ye Pawor.

Kigambibwa nti bano mu mugga bagwamu nga 22 November, 2022 olweggulo, omuyaga bwegwakuba eryato mwebaali batambulira.

Taata w’abaana bano Owachgiu Emmanuel ategeezezza nti omulambo gwa mutabaniwe Pirwoth Felix tegunnalabikako, era nga police n’abatuuze babayambako okuzuula omulambo ogukyabuze.

Omwogezi wa police mu bendobendo lya West Nile Josephine Angucia agambye bakola butaweera okunoonya omulambo ogukyabuze, kyokka naasaba abavubi okukomya okugenda mu mazzi nga tebalina bujacket bubataasa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });