Eyakwatira ekibiina ki National Unity Platform bendera mu kalulu k’omubaka w’ ekitundu kya Omoro mu Palamenti, Simon Toolit Aketcha afudde.
Toolit, afudde ku makya ga Mmande mu ddwaliro lya Lacor gyabadde yatwalibwa okujjanjabirwa. Ebisingawo ku nfa ye bibadde tebinamanyibwa wabula amawulire g’okufa kwe gakakasiddwa eyavuganya naye era omubaka w’ekitundu kino Andrew Ojok Oulanyah.
“Lunaku luzibu nnyo mu Omoro! Tufiiriddwa omu ku baana enzaalwa era eyaliko omubaka Simon Toolit Akecha ng’ono yaliko omubaka wa Omoro wakati wa 2006 ne 2011 era yavuganya mu kalulu akasembyeyo, omwoyo gwe Omukama agulamuze kisa,”Omubaka Ojok bw’agambye.
Kinajjukirwa nti Toolit yawa eyaliko omubaka w’ekitundu kino, Jacob Oulanyah akaseera akazibu era bweyamala era navuganya ne mutabani we Andrew Ojok Oulanyah.
Mu kalulu ka 2016, Toolit eyali ku kkaadi ya FDC yafuna obululu 6,823 ate Oulanyah owa NRM nafuna obululu 8,218 naddukira mu kkooti.
Oluvannyuma lwa Oulanyah okufa mu 2022 akalulu kaddibwamu Toolit navuganya mutabani w’Oulanyah Andrew OJok Oulanyah wabula ku luno yali ku kkaadi ya NUP era naawangulwa