Eno y’emu ku bizinensi eyinza okuvaamu ssente ez’amangu kubanga amasomero agasinga gaasabye abayizi okuddayo n’ebitabo ebyenjawulo omuli ebiwandiikibwamu n’ebyeyabisibwa mu kusoma naddala mu nsoma empya(New curriculum) eyateekeddwaawo minisitule y’ebyenjigiriza.
Mu kissera kino ,abasuubuzi abasing gye bataddemu ssente mu bitundu ebyenjawulo.Noolwekyo girowoozeko.
Ey’okwokesaamu empapula
Eno yeemu ku bizinensi ezitambula mu biseera by’okuggulawo amasomero kubanga erimu ebintu bangi omuli;okukola lisiit,bankslip,sitampun’ebir’ra ng’okufulumya ebiwandiiko.