Daddy Andre olwalinnya ku siteegi n’agambirawo abawagizi be nti “nze sirina mubeezi era Valentine yange ye mmwe.”. Kino kyalese enduulu ey’amaanyi ng’esaanikidde abawagizi be.
Yabadde akuba abantu emiziki gya Valentine ku bbaala ya KR e Wakiso n’ategeeza nti ssinga tebaamuyita, yandibadde mu kisenge kye nga yeebase kuba talina gw’agabira kamuli.
Andre yalinnya ku siteegi ku ssaawa 5:00 ez’ekiro n’akuba ennyimba ze zonna era olwa “Tonnerabira” lwe yayimba ne Angella Katatumba lwacamudde abadigize ne babinuka masejjere.
Abadigize era banyumiddwa komedi wa MC Kapale oluvannyuma endongo etasirika n’esaanikira ekifo.