Amawulire

Poliisi eli kumuyiggo gwa’babba n’okusobya ku baana abo’buwala.

Poliisi etandise okuyigga akabinja k’abazigu akali emabega w’okumenya amayumba mu budde obw’ekiro ne kanyagulula n’okukola effujjo naddala ku bakazi n’abawala.


Kiddiridde poliisi okufuna emisango ebiri egy’abavubuka abatambulira mu kibinja n’ebijambiya. abamenya n’okuyingira ebikomera mu bitundu eby’enjawulo ne babba ebintu by’omu nnyumba n’oluvannyuma ne basobya ku bakazi n’abawala.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga bwe yabadde mu lukuhhaana lw’abamawulire olwatudde e Naggulu ku Mmande yategeezezza nti, akabinja kano kaalumba ekikomera ky’omutuuze e Nakuwadde okumpi ne Bbira ne babba ebintu by’omu nnyumba naddala ebyamasannyalaze omuli ttivvi, leediyo essimu n’ebirala nga bibalirirwamu 2,800,000/-.


Abavubuka bano bwe baamala okunyaga ne basobya ku muwala ali mu luwummula lwa S6. Poliisi yakoze okunoonyereza nga yeeyambisa embwa ekonga olusu okukkakkana nga Edward Muwanguzi akwatiddwa abayambeko mu kunoonyereza.
Enanga yagambye nti akabinja kano nga March 1 2023, kaalumba ekikomera kya Jesca Byalusha e Kitende ne kanyaga ebintu eby’enjawulo omwali ne ssente enkalu. Abavubuka bano bwe baamala okunyaga ne basobya ku mukazi eyabadde alabirira amaka gano ne babulawo n’omunyago gwabwe omwabadde n’emmotoka nnamba UBG 368J.
Yategeezezza nti okunoonyereza ku bubinja buno poliisi ekukwasizza ekitongole kya poliisi ekikessi ekya Crime Intelligence wamu ne Flying Squad.
Asangiddwa ne pikipiki 2 enzibe
Enanga yagambye nti abaserikale ku poliisi e Naggalama baakutte omugoba wa bodaboda Muhammad Lubega olw’okwenyigira mu kubba pikipiki ku bagoba baazo n’azitema sipeeya.Yagambye nti Lubega abeera Kansanga – Kiwafu siteegi.
Yategeezezza nti oluvannyuma lw’okumukunya yatutte abaserikale gy’abadde akolera ne bazuula pikipiki bbiri okuli; UEF 455L ne UEV 412R nga kati banoonya bannannyinyizo

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top