Amawulire

Buli mukyala asobola okusigaza eddembe lye nga tasudde buwangwa bwe.

Eddembe ly’abakyalaterikomye ku kusitulwa gavumenti eya wakati yokka naye okusinziira ku, minisita Noah Kiyimba avunaanyizibwa ku byamawulire n’empuliziganya e Mmengo n’Obwakabaka obw’omulembe Omutebi nabwo bukoze kinene okusembeza abakyala ku mwanjo ne bubawa n’ebifo by’obukulembeze okuddukanya Obuganda.


Minisita Kiyimba agamba nti, wadde omukyala asituddwa n’aweebwa n’eddembe eriwera, tasaanidde kusuula buwangwa bwe muguluka kuba bukola kinene mu kukuuma empisa n’okuleeta emirembe n’obutebenkevu mu bantu.

Weeyambule ebitiibwa ng’okomyewo awaka
Kiyimba agamba nti, endowooza y’abaami ey’okugaana abakyala okukola erinnyirira eddembe lyabwe. Omukyala ensangi zino akkirizibwa okukola era akuzibwa ku mulimu n’aweebwa n’ekitiibwa.


Wabula kya buwangwa ate era kya mpisa omukyala omufumbo obuteerabira buvunaanyizibwa bwe obw’awaka.
Noolw’ekyo bw’onnyuka n’odda awaka ekitiibwa kyo eky’oku mulimu obeera olina okukyeyambula n’olabirira abaana wamu n’okuweereza omwami wo wakati mu bugonvu obwa waggulu n’okumuwuliriramu.
Omukazi osigala ggwe ovunaanyizibwa ku kukakasa nti, alidde, alabika bulungi mu nnyambala ate nga n’emirimu gyo egy’omu kisenge ogituukiriza bulungi awatali kumukuba
mugongo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top