Amawulire

Tussaba gavumenti etwongeze ku bbanga lya layisinsi.

Bannannyini  masomero g’obwannannyini mu ggwanga basabye gavumenti okwongezaayo ku bbanga kwe baddiza obuggya layisinsi zaabwe olw’ensonga nti bakaluubirizibwa nnyo mu kwewola okukulaakulanya amasomero.

Bano okwogera bino basinzidde mu musomo gw’ebyenfuna ogwategekedwa ekitongole kya Entrepreneur Finance Centre (EFC) okuwabula bannannyini masomero ab’enjawulo ku ngeri gye basobola okukozesaamu ssente okwekulaakulanya ate n’okwewala amabanja agayitiridde ng’agamu gatuusa n’ebintu  byabwe okutwalibwa zi bbanka.

Dr. Sarah Nkonge Muwonge, omu ku batandisi b’amasomero g’obwannannyini mu ggwanga yategeezezza nti gavumenti olw’okuba layisensi z’ebawa za myaka ettaano gyokka, bwe beewola ssente okukulaakulanya amasomero gaabwe abawozi ba ssente balemererwa okubeesiga okubawa ebbanga eddeneko olwa layisinsi okuba nga oluusi ziba zinaatera okuggwaako.

Wano weyasinzidde n’asaba gavumenti ne minisitule y’ebyenjigiriza okubawanga layisinsi waakiri za myaka 10 nga kino kibayamba ne bwe baba balina ebbanja lye basasula okulimalayo nga tebafunye kutaataaganyizibwa nnyo. 

Micheal Ssekyondwa, omukugu mu byenfuna era nga ye ssenkulu wa EFC yasabye bannannyini masomero bulijjo okukozesa sente ze babeera beewoze okukola ekyo kye babeera bazeewoledde n’ategeeza nti emirundi mingi abantu beewola ssente ne bazikozesa ebirala ne balemwa okutuukiriza ekyo kye babeera bazeewoledde olwo ne bafuna obuzibu.

Ssekyondwa yategeezezza nti ekitongole kyabwe kyakulaba nga kikwasizaako bannannyini masomero nga bayita mu nkola gye baatuumye “Upgrade your school” okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe. 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top