Akulira oludda oluvuganya government mu parliament Mathias Mpuuga Nsamba aloopye abachina abakolera wano mu Uganda abeeyita ba musiga nsimb, eri government yabwe eya China nti basusse okusaanyawo obutonde bwensi mu Uganda nga bekweka mu kusiga ensimbi.
Mpuuga asabye government ya China ekome ku bantu baayo bano bakomye okwonoona obutonde bw’eggwanga lino Uganda.
Mathias Mpuuga Nsamba okusaba kuno akuttise omubaka wa China mu Uganda Zhang Lizhong bwabadde amukyaluddiko mu office ye ku Parliament mu nsisinkano mwebogeredde ku nsonga eziwerako.
Mathias Mpuuga Nsamba agambye nti wadde bawagira eby’okusiga ensimbi mu Uganda n’okuwa abantu emirimu, nti naye kikwasa ennaku abachina bano obutafa ku butonde bwansi, ekyoleekedde okutaataaganya ebiseera by’eggwanga bino ebyomumaaso ne project zabwe zennyini zebasizeemu ensimbi nazo ziggya kwonooneka.
Era amusabye ayogereko nebannanyini makolero ago bawe bannansi ekitiibwa abakolera mu makolero ago, naagamba nti newankubadde bakozi, nti naye basaanye okuyisibwa ng’abantu.
Ba minister ku ludda oluvuganya government okuli Yusufu Nsibambi, Joyce Bagala ,Francis Mwijukye, Francis Katabaazi beetabye mu nsisinkano eno.
Bano tebalumye mu bigambo byabwe babuulidde ambassador wa China mu Uganda nti okutulugunyizibwa bannayuganda abakola mu makolero gabaChina kwebayitamu, kuliko okubakabasanya, okukolera mu mbeera embi ebatyoboola, wamu nabachina okusengula bannansi ku ttaka lyabwe.
Bano era bemulugunyizza ku mutindo omubi ogw’ebintu n’enguudo ezikolebwa kampuni y’abachina zebakola mu Uganda, nti ekibiviirako obutaba bya buwangaazi.
Mu kwanukula ,omubaka wa China mu Uganda Ambassador Zhang Lizhong agambye ekitebbe Kya china mu Uganda kifuba nnyo okulungamya abatwala kampuni za government ya China mu Uganda okugoberera amateeka ga Uganda mu nkola yaabwe eyemirimu ,wabula kizze kisanga okusoomozebwa okw’amaanyi okulungamya banannsi ba china mu Uganda abalina kampuni ezabwe ez’obwannanyini.
Ambassador Zhang Lizhong wabula asuubiza nti ekitebe Kya china mu Uganda kyakwongera okutuukiriza abantu abo bogere nabo ku nsonga ezo