Paapa Francis addusiddwa mu ddwaaliro n’aweebwa ekitanda ng’assa bubi.
Ekisinze okwewanisa abakkiriza emitima, y’engeri gye yafunye akawuka akaamuleetedde lubyamira kyokka ate ng’asangiddwa alina egguggwe limu, embeera ye n’etabuka.
Paapa Francis ow’emyaka 86, yakebeddwa ng’alina obuwuka obuyingira omuntu n’afuna kissenyiga eky’amaanyi nga kati ne bw’ayogera, kizibu okutegeera nti ly’eddoboozi lye.
Paapa baamuwadde ekitanda ng’omukka akaka mukake. Abasawo bagamba nti yafunye kye bayita ‘infection’ nga kano kabeera kawuka akayingira omuntu n’akwatibwa obulwadde obw’enjawulo naddala ssennyiga oba ekifuba.Omwogezi w’Eklezia mu nsi yonna, Matteo Bruni yagumizza Abakatoliki abasukka mu bukadde 1200 mu nsi yonna nti, Omutukuvu bwe yakebeddwa kyazuuliddwa nga talina COVID-19 wabula akawuka
akaaleese ‘infection’ n’atabuka ku Lwokusatu n’addusibwa mu ddwaaliro lya Gemelli University Hospital mu kibuga Roma ekya Italy.
Eddwaaliro lyerimu Paapa gye baamulongooseza evviivi mu 2021 era kati ebiseera ebisinga atambulira mu kagaali. Vatican eri wakati mu kibuga Roma era nsi ya njawulo ku Italy, erina ne Pulezidenti waayo, Paapa. Paapa Francis amaze ebbanga
ng’abasawo bamusaba akendeeze ku mirimu. Kyokka kino yakigaana era nga Paapa John Paul bwe yajeemera abasawo abaamusaba awummule n’abategeeza nti bw’aba waakufa, ajja kufiira ku mulimu nga Yezu bwe yakomererwa n’afa
ng’atuukiriza ekyamutumibwa. Egguggwe lya Paapa erimu lyasalwako nga muto, bwe
lyalwala. Omuntu azaalibwa n’amawuggwe abiri (2).