Omugagga attottoledde ab’obuyinza engeri mukazi we gy’amuliisizza akakanja nga yatuuka n’okumufumita ekiso mu lubuto oluvannyuma lw’okumutega obutwa mu mmere emirundi ebiri nga amutebuka.
Omugagga agamba omukazi ayagala amusindiikirize yeetamwe amaka olwo ye omukazi aleete omusajja omupya mu nnyumba.
Omukazi agamba nti bba afumbirwa bannakyeyombekedde ekyamuviirako okusuulirira obuvunaanyizibwa bw’amaka.
Masasi Moses omusuubuzi mu tawuni e Nazigo mu disitulikito y’e Kayunga aggyeemu essaati okulaga enkovu gye yasigaza olw’ekiso mukyala we Turyanabo Rose nga ali n’omu ku bawala baabwe kye yamusogga.
Turyanabo ye yaloopye mu ofiisi ya Collins Kafeero Probation Officer wa Kayunga era nga y’avunanyizibwa ku kulondoola ebintu by’abafu nga agamba nti bba Masasi gw’alinamu abaana bataano yasuula obuvunaanyizibwa bw’amaka n’atandika kugenda nga asenga BannakyeyombekeddeTuryanabo wano yamenye abakazi mukaaga b’agamba nti bba abatabaala nga n’omu amugabana ne basajja banne.
Bino byabadde mu lukiiko Kafeero lwe yatuuzizza okutabaganya abafumbo bano nga ali n’owa poliisi n’omuntu wa bulijjo e Kayunga Mohammed Ssebuliba.
Kafeero ne Ssebuliba baabadde bakyabuulirira abafumbo bano batabagane ssentebe wa LCI David Kiyaga n’asitukiramu n’ategeeza nga bw’ali kafulu mu kwawukanya abafumbo era bamusanga ne bamuwa ebirabo n’olwekyo Masasi ne Turyanabo bateekeddwa okwawukana.Masasi agamba nti bwe yamala okusimattuka obutwa obw’emirundi ebiri omukazi bwe yamulungira mu buugi ne mu nnyama, omukazi teyaweera yamusuubiza okumuteekako omusango era wano yatendeka omu ku bawala baabwe ayogere nti kitaawe abadde amusobya ku mpaka.