Amawulire

Abasomesa basiimiddwa olw’okutumbula ebitone bya bayizi.

Okubbinkana kuno kubadde ku ssomero lya Nakawa Union Vision Secondary School e Butabika ku mukolo abayizi ku ssomero lino mwe babbinkanidde mu kuyimba, okuzannya katemba, okutontoma wamu n’okuzina amazina ag’ekinnansi.

Omukolo gwatandise na kusaba kwa kwebaza Katonda olw’abayizi okukola obulungi mu bigezo bya S.4 ne S.6 era ne basiimibwa wamu n’abasomesa baabwe.

Guno gwakulembeddwa omusumba Kim Sung Goan ng’ono  yakubirizza abazadde n’abayizi okwekwasa Katonda mu buli  kye bakola kubanga tewali kye basobola kukola ne kitambula bulungi nga tewali maanyi ga Katonda.

Pr. Kim yalagidde abayizi bano okusabanga buli kiseera emisomo gyabwe gitambule bulungi baleme kuggwaamu maanyi era beekuumire mu ssomero ne ku misomo gyabwe bajja kutuuka ku bye baluubirira.

Ate Moses Okwera Mugisha, mmemba ku lukiiko olufuga essomero lino yasiimye abatandisi b’essomero lino  okuva mu Korea kubanga lifaayo nnyo ku muntu wa wansi era abayizi mu bitundu by’e Butabika n’emiriraano abaali tebasoma babakirizza okusoma nga babawa sikaala.

Oluvannyuma abayizi babbinkanye mu kuzannya katemba n’okuyimba nga bayita mu nnyumba zaabwe/ebibinja okuli ekya Abraham, Josiah ne Isaiah era zaagenze okukomekkerera ng’ennyumba ya Josiah ewangudde empaka zino n’obubonero 315, n’eddirirwa Isaiah n’obubonero 247 ate Abraham n’efuna obubonero 231.

Akulira essomero lino, Mary Namazzi yasiimye abasomesa abatendese abayizi bano wamu n’abazadde abakwataganye nabo mu kutumbula ebitone byabwe nga tebakomye ku bya nsoma mu kibiina byokka.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top