Famire eyafiiriddwa abantu bana mu nnaku ssatu ez’omuddiring’anwa eri mu kusoberwa era abaasigaddewo bagamba nti tebamanyi kyakuzzaako olw’entiisa eno eyaguddewo.
Ab’obuyinza e Kayunga bategeezezza nti omu ku bagenzi yafudde kirwadde ki COVID 19 wabula ababala abasatu ekyabasse kikyatakuza abakugu emitwe.
Bino biri ku kyalo Kayongo mu ggombolola y’e Busaana mu disitulikiti y’e Kayunga.
Olumbe olukyatakuza bangi emitwe lwasse taata n’abaana be basatu era nga taata ne mutabani we ow’emyaka 35 nga yabadde azze kuziika baafudde olunaku.
Olumbe lwasoose kutta omu ku bawala b’omu maka ow’emyaka 17 era ono olwamuziika ate enkeera mutoowe ow’emyaka 15 n’akutuka.
Baali bamaze okuziika omwana ow’okubiri ate nnyinimu Umar Kitimbo 55, n’akutuka ate ne waayita essaawa nga bbiri n’omulenzi omukulu Charles Wasswa 34, n’afa era nga bonna baafiiridde waka.
Muto w’omugenzi nga ye Abdu Wasswa atugambye nti maama w’abaana b’omu maka nga ye Jennifer Naigaga yadduka kiwalazima olw’ensisi eyagwawo era ali mu baganda be, amaka gaasigaddemu baana.
Atubuulidde engeri obulwadde gye bwassengamu abagenzi nti omuntu asooka kulumwa lubuto n’afunamu embiro n’ekiddirira kuba kuyongobera era mu bbanga lya ssaawa ezitasukka munaana nga akutuka.