EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kigudde mu lukwe lwa basipiika ba disitulikiti, City ne munisipaali lwe baluse okusisinkana Pulezidenti Museveni asobole okubakolera ku bizibu byabwe ebibasoomooza.
Akulira ofiisi etwala Gavumenti z’ebitundu mu NUP, Alex Rovans Lwanyaga yagambye nti tebasuubira sipiika yenna ow’ekibiina kyabwe okugendayo n’alabula nti aneetantala n’alinnyayo yeenenyanga yekka ku binaddirira.
Yagambye nti waliwo basipiika baabwe abamu abaabab-biddemu ku nteekateeka eno gye baategedde nti ekulembeddwa aba NRM okuli sipiika we City y’e Mbarara, Bonny Tashobya Karutsya ne sipiika we Lubaga Musa Mbaziira.
Ekibiina kyafulumizza ekiwandiiko ekirabula basipiika baabwe obutagenda mu nsisinkano yonna kuba kyabu-labe gye bali ng’abantu n’enkola y’ekibiina mwe bakkiririza. Lwanyaga agamba nti wazze wabaawo en-teekateeka ezikolebwa okutwala bammemba baabwe e Kyankwanzi, kyokka nga bazirinnyamu eggere.
Olusembyeyo baali baagala kutwala bassentebe ba disitulikiti ne bammeeya b’ebibuga ne babagaana okugenda. Baalabye tekibamalidde kati bazze ku basipiika.
Ssaabawandiisi w’akabondo aka-gatta abakulembeze ba Gavumenti z’ebitundu aba NUP era sipiika we Wakiso, Nasiif Najja ya-gambye nti baategeddeko ku nteekateeka eyogerwako.
Kyokka bakubiriza buli mmemba waabwe obuteetantala kugendayo. Ekirala kye baategeddeko kwe kuba nga wali-wo bannaabwe abeeku-lubeeseza ku pulojeti ya MK Movement ne ‘Jjajja Tova ku Main’. Kyokka bino byonna bikontana n’ebiruubirirwa byabwe.
Sipiika w’e Makindye, Charles Luba Lwanga yategeezezza nti enteekateeka aziwulira, kyokka nga talabawo bwetaavu bwa nsisinkano eno.
Bukedde bwe yatuukiridde Mbaziira gwe balumiriza okubeera emabega w’ensisinkano eno, yagambye nti kituufu basipiika baasaba Pulezidenti abasisinkane bamunnyonnyole embeera gye bayitamu ng’okubeera nga tebabanguddwa mu by’amateeka ge balina okukwasisa.