Amawulire

EMbela ya Ssegiriinya etiisa.

Banna Yuganda bankuba kyeyo beeyiye mu ddwaaliro ly’e Amsterdam mu Netherland okulambula ku mubaka Mu­hammed Ssegiriinya kyokka buli amulabako avaayo ng’amanyi gamuweddemu olw’embeera gyalimu.

Ekimu ku bisinze okutiisa abamulambuddeko ye langi ye okukyuka ng’ebitundu bye ebimu bipeeruuse ate birala ne biddugala ate ebitundu ebirala ne biba ng’ebivaamu evvu era basabye buli muntu okussa Sse­girinya mu ssaala.

Mu baagenze okumulabako kwabaddeko Omwami wa Kabaka akulira Abaganda abali mu Neth­erlands Owek. Sam Ssekajugo nga yagenze ne mukyala we Julie Ssekajugo amanyiddwa nga Julie Angume. Abalala abaagenze kwabaddeko Muzeeyi Mulindwa Gavamukulya n’abalala.

Ssegirinya ajjanjabirwa mu ddwaaliro lya Gavumenti erya AMC Hospital Amster­dam era ng’okusinziira ku Ssekajugo lino lye ddwaa­liro erisinga obunene mu Netherlands. Eno yatwalid­dwayo okwongera okufuna obujjanjabi oluvannyuma lw’eddwaaliro lya Hagen-Am­brock e Germany gye yasookera okulemererwa okumuwa obujan­jabi obwetaagisa.

Ssekajugo bwe yagambye nti Ssegirinya baamulabyeko naye embeera gyalimu ekyali nnafu ddala. Afuna obuzibu mu kussa era ekiseera kituuka n’asiriikirira okumala akabanga ate oluvan­nyuma n’akkakkana nnyo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top