Poliisi mu bitundu bye Kano mu ggwanga lya Nigeria eri mu kunoonya abakyala babiri (2) ku misango gy’okusobya ku musajja mu kiro.
Omusajja agamba nti yabadde ava ku mulimu okudda awaka ku ssaawa nga 3 ez’ekiro, kwe kusanga omu ku bakyala ng’alaga nti asobeddwa.
Ng’omuntu omulala yenna alina omutima omulungi, omukyala yasabye omusajja obuyambi okubaako byasitula awaka.
Okutuuka awaka, nga mu nnyumba mulimu omukyala omulala nga naye ali wakati w’emyaka 30-35.
Omukyala yabadde akutte akambe era yasuubiza okufumita omusajja singa akuba enduulu.
Omusajja yatwaliddwa mu kisenge era abakyala baamukozeseza okumala essaawa ezigenda mu 2 omuli n’okumunywesa omwenge.
Ku ssaawa nga 7 ez’ekiro, omusajja yakkiriziddwa okudda awaka era agamba nti yabadde akooye nnyo.
Yasobezeddwaako ekiro ku Lwomukaaga era ku Ssande, yaddukidde ku Poliisi okulopa omusango.
Mu kiseera kino, omusajja agamba nti yafunye eddagala eriyinza okumuyamba obutafuna bulwadde nga ne Poliisi bw’enoonya abakyala.
Mu Nigeria, kigambibwa bangi ku bakyala abanoonya omukwano, begumbulidde okuwamba abavubuka abato n’okubasobyako n’okusingira ddala wakati w’emyaka 25 – 35 ku mpaka.