Eno wiikendi ewedde yasooka n’ayanjula abakyala abooluganda babiri omulundi gumu era ne babawoowa olwo n’azaako n’abalala.
Omukolo gutandise na kuyisa bivvulu mu kabuga Mugereka okubadde aba boodabooda n’aba bandi ababadde bawerekeddwaako emmotoka okuli amannya g’abakyala be bonna omusanvu baakubye embaga, wakati mu bantu ababadde bakwatiridde ku makubo okwelorera.
Ssaalongo Nsiko nga bawatera okuyitibwa bakira asomba bakyala be omu kw’omu okuva mu kasenge gye bakoledddwaako nga bwabayingiza buli omu mu mmotoka ye wakati mu mizira n’enduulu okuva mu bantu.
Nsiko ategeezezza nga bw’asazeewo okwawukana ku balala n’akuba bakyala be bonna embaga olw’empisa zaabwe ennungi, obugumiikiriza n’okwagala kwe bamulaze era nti bonna bakkiriza okubakuba embaga omulundi gumu.
Ono era agambye nti akamu ku bukodyo bw’akozesezza kwe kuwa bakyala be bonna buli omu ky’ayagala era nga tewali atoma, ekyabaleetedde n’okukkaanya okubakuba embaga omulundi gumu.