Minisita w’ensonga ez’omunda mu ggwanga, Gen.Kahinda Otafiire yeetondedde pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine olw’engeri gye yakwatiddwaamu okuva ku kisaawe e Ntebe.
Kyagulanyi yakwatiddwa nga yaakatonya ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe ku Lwokuna, abasajja babiri abaabadde mu ngoye ezaabulijjo abaamuvumabgidde ne bamukunguzza ne bamussa mu kamotoka akaabadde kasimbiddwa ku kisaawe mwe bamutwalidde okumutuusa mu kifo awabadde Drone ya poliisi ,mwe bamuvugidde okumutuusa mu maka ge e Magere wakati mu byokwerinda ebyamaanyi.
Gen.Otafiire yategeezezza nti ekyakoleddwa ku Kyagulanyi kyakoleddwa wakati mu kwegendereza obutatyobola ddembe lye ery’obuntu era kyayambye okutaasa abawagizi be abandibadde balumizibwa n’okufiira mu kavuyo k’okumwaniriza okuva ku kisaawe e Ntebe.
‘’Kyagulanyi bw’abeera si musanyufu n’engeri gye yayisiddwamu musaba ansonyiwe n’abawagizi be bonna abayisiddwa obubi.’’Gen.Otafiire bw’ategeezezza
Wabula yatendereza obukugu abakuumaddembe bwe baakozesezza okwanganga Kyagulanyi, okwewala obuvuyo obwaliwo wakati wa Kyagulanyi n’abawagizi be mu November wa 2020, omwafiira abantu abangi.
Yagambye nti abakuumaddembe era bataasizza bizinensi z’abantu nnyingi naddala ku luguudo lw’e Ntebe.
Kinnajjukirwa nti ku Lwokusatu, poliisi yabadde emaze okulabula abawagizi ba Kyagulanyi obutagezaako kugenda Ntebe kwaniriza Kyagulanyi.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti Bobi Wine si musibe era wa ddembe okutambula nga Munnayuganda omulala nga n’abawagizi be ba ddembe okumukyalira mu maka ge.
”Abakuumaddembe abali mu kitundu bateereddwayo kukuuma butebenkevu okulaba nga tewali atabangula mirembe’’Onyango bwe yategeezezza
Yagambye nti abantu tebasaanye kutya olw’abakuumaddembe abali mu kitundu kino kubanga baliwo kubawa bukuumi n’ebintu byabwe, nga bwe balawuna ebigenda mu maaso.
Kyokka yadde guli gutyo embeera ekyali ya bunkenke ku kyalo nga buli mmotoka efuluma n’eyingira ku luguudo olugenda mu maka ga Bobi Wine n’abagirimu basooka kwazimbwa okweyongerayo.