Malaaya akubye enduulu mu loogi olw’omusajja eyamuwadde ssente ekiro kyonna, okusangibwa nga musajja mu basajja.
Malaaya ategerekeseeko erya Sarah ali mu myaka 27, y’omu ku bakyala abatunda omukwano ku luguudo lwe Kampala – Ggaba n’okusingira ddala ku luguudo olugenda ku KK beach e Ggaba.
Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Ssande ku ssaawa nga 3 ez’ekiro oluvanyuma lw’omupiira gwa Arsenal ne Man City, Sarah yabadde ali ku kkubo alinze kasitoma okumpi n’essomero lya New Castle High School ku luguudo lwe Ggaba.
Wadde Sarah atunda omukwano okuva ku shs 5,000, kigambibwa yakaanyiza n’omusajja ssente shs 40,000 ekiro kyonna.
Omusajja yamutadde mu mmotoka ekika kya Noah ne bagenda mu loogi mu bitundu bye Kkonge, Makindye, okulya obulamu.
Mu kusooka, Sarah yabadde alaga nti mwetegefu okuwa omusajja essanyu kuba yabadde amusasudde bulungi.
Omu ku bakozi ku loogi, agamba nti nga batuuse mu kasenge ka loogi, mu ddakika 10, Sarah yasabye omusajja okumuddiza ssente kuba waya yabadde esukkiridde obunene.
Kigambibwa omusajja yalemeddeko kuba Sarah yabadde amaze okulya n’okunywa ebintu bye ate yabadde ekyamuse.
Mu ddakika 30, Sarah yakubye enduulu ng’asaba abakozi ku loogi okutaasa kuba ku lawundi esooka mu ddakika 7 zokka, Sarah yabadde akooye nnyo, nga tasobola kusigala mu loogi.