Entekateeeka z’ekijjulo ekyenjawulo ekitekateeka embaga ya Kyabazinga wa Busoga William Gabula Nadyope IV,kyakwolesa obuwangwa bwa Busoga n’okusonderako ensimbi eziteekateeka embaga ya Kyabazinga.
Ekijulo kino kyakubeera mu kisaawe e Kololo nga 27 October,2023 nga abasoga bonna okuva mubuli nsonda ya ggwanga basuubirwa okwetaba ku mukolo guno, mu kawefube ow’okukola emikolo egiggyayo ekitiibwa kya Busoga.
Omwogezi w’akakiiko akateekateeka emikolo gyino Justine Kasule Lumumba ategezeza nti nga Busoga bayise mu kusoomozebwa kungi nga kekaseera basisinkane, babeeko nekyebazza eri obukulembeze bwabwe obw’ennono
Lumumba mungeri yemu agambye nti bagenda kukozesa emikolo gino egy’ekijjulo ky’embaga ya Kyabazinga, okwolesa ebivuga ebyekinnansi byebalina mu Busoga n’okulaga emmere yabwe eyekinnansi bajaagazise abantu abalala.
Omukolo omulala gwakubaawo nga 28 October,2023 ku kyalo St Mulumba mu Town council ye Mayuge, ogw’okusiibula Ihnebantu Mutesi.
Omumyuuka namba ssatu owa Sabaminista Nakadaama Isanga yakulembedde enteekateeka zino .
Embaga ya Kyabazinga wa Busoga yakubaawo nga 18 November, okulaga abasoga Inebantu Jovia Mutesi mu lutikko e Bugembe.