Amawulire

UCC etaddewo nsalesale omulala ku batayagala kuwandiisa namba za ssimu zabwe.

 

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga ki Uganda Communications Commissions (UCC) kirangiridde nsalessale wa nga 12.November, 2023, okusalako ennamba za ssimu zonna ezitali mpandiise ku buli mukutu gwa byampuliziganya.

Guno mulundi gwa kubiri UCC ekola okulabula bwekuti oluvannyuma n’ekwongezaayo.

Avunaanyizibwa ku by’amateeka mu UCC Dr. Waiswa Abudu Salam abadde ku kitebe kya UCC e Bugoloobi agambye nti balina essuubi nti okuwandiisa essimu kugenda kumalalwo ebikolwa eby’ettemu ebibadde bikolebwa ku bantu, naddala nga basoose kuweerezebwa bubaka bulabula.

UCC egamba nti ennamba z’essimu emitwalo 330,000 zezitali mpandiise, wabula nga mweziri zikozesebwa.

Mu ngeri yeemu Dr Waiswa alabudde abantu abakozesa enamba z’essimu ez’abantu abaafa nti bakikolera mu bumenyi bw’amateeka, mungeri yeemu naalabula abasuula kko n’ababbibwako essimu nebataziroopa ku police nti bandigwa mu butego bw’akozi b’ebikolobero.

Omukwanaganya w’Omukutu gwa Airtel Uganda David Birungi, agumizza bonna abatannaba kwewandiisa ssimu zabwe  mu mateeka kyokka nga balina ensimbi ku masimu gaabwe nti ensimbi ezo tezigenda kutwalibwa, wabula bajja kuyita mu misoso egyenjawulo baddizibwe ensimbi bzabwe.

Mungeri yeemu abakulira emikutu gino bategeezezza nti tewali mukozi wa mukutu gwa byampuliziganya yenna alina kugya ssente kwooyo ayagala okwewandiisa nti kuba kya bwereere.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top