Amawulire

 Owabbooda bamuwadde bisikwiti aliko kalifoomu ne bamubbako ppiki.

 

Owabbooda abaamupangisizza okubavuga baamuwadde bisikwiti aliko kalifoomu ne bamubbako pikipiki , abatuuze ne poliisi babatayiza ne bakwatako omu ne babasuuza ne pikipiki.

Junior Kirabira 22, omutuuze w’e Kazo zzooni ll mu minisipaali y’e Lubaga  akolera ku siteegi y’e Kawaala ku ttaawo ye yasimattuse okufa oluvannyuma lw’omusajja eyabadde n’omwana okumupangisa n’amuwa bisikwiti alimu kalifoomu n’ekigendererwa ky’okumubbako pikipiki ya mukama we nnamba UFW 802M.

Kirabira ng’ali mu ddwaaliro e Kasangati, yagambye nti yabadde Kawaala  omusajja  n’omwana yamugambye  abatwale ku Bahai n’abasaba  7000 /- era baabadde balya bisikwiti naye ne bamuwaako.

Yagambye nti ebyazzeeko yabitegedde ali mu ddwaliro e Kasangati ng’abasawo bamugamba bamukubye kalifoomu.

Bashiri Ssemanda akulira ebyokwerinda e Luteete ku luguudo  lw’e Gayaza yagambye nti abatuuze bwe baalabye ababbi  baamutemeezzako n’akubira poliisi y’e Masooli eyayanguye ne babataayiza kyokka baasobodde kukwatako  omu.

Ono yabadde agoberera munne eyapangisizza Kirabira  ng’ekyamukwasizza kasita baamubuzizza gy’abeera n’abagamba kawaala nga ne pikipiki UFY 915B yabadde agivugisa kimama, ne bamukwata. Baasobodde okununula pikipiki ya Kirabira.

Yagambye nti ababbi Kirabira baamuggye Kawaala ne bamutwala ku dipo ya bbiya ne bamuyingiza munda mu kikubo ky’ettaka era abamu baabadde mu mmotoka ekika kya Sienta abaabadde bagoberera bannaabwe bo tebaakwatiddwa wabula gwe baakutte akuumirwa ku poliisi y’e Masooli.

Juliet Nagawa maama wa Kirabira yagambye nti mutabani tavuga pikipiki naye ababbi baamupangisizza misana kuba okutegeera nti bamukubye kalifoomu yategedde ssaawa nga 12:00 ez’akawungeezi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top