Amawulire

Gavumenti ya Uganda eweerezza ababaka begayirire America.

Gavumenti ya Uganda esindise ekibinja ky’abakungu okugenda okwegayirira government ya America okusazaamu enteekateeka y’okugoba Uganda mu katale ka AGOA, government ya America keyatandiikawo mu mwaka gwa 2001.

Akatale kano Gavumenti ya America yakatandiikirawo amawanga ga Africa okutwala ebyamaguzi byago byegakola, bitundibwe mu katale ka America ewatali misiso.

Uganda y’emu ku mawanga ga Africa 38 agatunda eby’amaguzi byago mu katale ako.

Wabula omwezi gwa October, 2023,  omukulembeze wa United States of America Joe Biden yawandiikira sipiika wa parliament ya America ento, ng’agitegeeza nti government ye yakugoba Uganda mu katale ka AGOA okutandiika ne 2024,  olw’okulemererwa okussa ekitiibwa mu ddembe ly’obuntu.

America erumiriza Gavumenti ya Uganda okutyoboola eddembe lyobuntu, omuli okuyisa etteeka erikangavvula abeenyigira mu mukwano ogw’ekikula ekimu, vvulugu eyeyolekera mu kulonda 2021, okulinyirira eddembe lyabannamawulire, nebannansi abavuganya government nebikolwa ebirala.

Yadde omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni wiiki ewedde yasinziira mu kusaba okwateekebwa mu maka gobwa President Entebbe naategeeza nti teyeetaaga kugenda mu America oba okwegayirira abazungu.

Wabula ministry y’ebyobusuubuzi n’amakolero ekakasiza nti government yasindiise ekibinja ky’abakulu okugenda mu America okwenyonyolako ku nsonga ezanokolwaayo America bweyali erangirira ekyokugoba Uganda mu katale kano.

Minister Omubeezi owebyobusuubuzi Harriet Ntabazi agambye nti ekibinja kino kyakulembeddwaamu muko w’omukulembeze w’eggwanga ayitibwa Odrek Rwaboogo, oluvanyuma lwa minister webyobusuubuzi Francis Mwebesa eyali alina okukikulembera okufunamu obukosefu.

Wabula Minister Ntabazi akyakalambidde nti Uganda tegenda kupondooka olwetteeka lyeyayisa erikangavula abeenyigira mu mukwano ogw’ekikula ekimu, agambye nti Uganda weyasibira weewo, tegenda kuddiriza oba kufiirwa katale ka AGOA ekafiirwe kubanga ne sente zeefunayo ssi zeziri awo ennyingi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top