Amawulire

Omusiisi wa Chapati akutte mukyala we n’omwoki w’enkoko.

Omusiisi wa Chapati avudde mu mbeera, agobye mukyala we mu maka oluvanyuma lw’okuzuula nti abadde akola obwenzi n’omusajja omwoki w’enkoko.

Omusiisi wa Chapati ategerekeseeko erya Katende agamba nti abadde afuna amawulire nti waliwo omusajja ali mu laavu ne mukyala we nga buli kiro, alina okumuleetera enkoko.

Katende agamba nti mukyala we Juliet yabyegaana nti ebyo bigambo by’abantu.

Wabula akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, Katende yavudde ku mulimu ku ssaawa nga 2 ez’ekiro okudda awaka, nga yabadde tawulira bulungi.

Okutuuka mu makaage e Lugoba – Kawempe, nga mukyala we ng’ali mu nnyumba n’omusajja omulala, bali mu kusinda mukwano.

Ng’omusajja omulala yenna, ne Katende yavudde mu mbeera era okusamba oluggi, kyawaliriza abatuuze okung’aana okwekeneenya embeera.

Omukyala Juliet yasabiddwa aggulewo oluggi era amangu ddala omusajja omu ku batunda enkoko enjokye ku kyalo, yavudde mu nnyumba wakati mu kuswala.

Katende yavudde mu mbeera nga yabadde akutte omuggo okukuba omusiguze wabula yataasiddwa abatuuze.

Wakati mu maziga, yasabye abatuuze Juliet okuva mu makaage, kuba kati afunye omusajja omulala.

Yalabudde nti singa agaana okuva mu makaage, ayinza okumuttira mu nnyumba.

Ku ssaawa nga 4 ez’ekiro, wakati mu kusakaanya Juliet yavudde awaka okugenda n’omusiguze ku bodaboda nga Katende yasigadde mu maziga.

Katende agamba nti abadde ne mukyala we Juliet ebbanga lya myezi 8 nga tebannafuna mwana yenna.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top