Famire y’omugenzi Paddy Sserunjogi abadde amanyikiddwa nga Sobbi ewanjagidde ebitongole byokwerinda okunoonyereza okutuusa nga bazudde abantu abasse omuntu waabwe.
Sobbi, eyali yeegulidde erinnya mu kubba abantu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, wabula yattiddwa ku kyalo Kibaale mu ggoombolola y’e Maddu mu disitulikiti y’e Gomba ku Mmande nga 18, December, 2023.
Okunoonyereza kulaga nti ku ttaka ly’omutuuze Kalisa ku kyalo Kibaale, waliwo ekibiinja ky’abantu ekyalumbye ekibinja ekirala nga ekiri 50, nga bakutte emiggo, ebiso, amayinja, amafumu, ekyavuddeko Sobbi, okuttibwa.
Ettaka, eryavuddeko obuzibu, kujjudde enkayana nga kigambibwa omugagga Kalisa, yaligula mu 2007 obukadde 100, nawaayo obukadde 20 kyokka kigambibwa yaligula ku muntu mukyamu.
Wabula abaana b’omugenzi Kibi Paul ssaako n’abazukkulu nga bakulembeddwamu Deborah Nagadiya ssaako ne Kiwewa Barton, balemeddeko nti ettaka lyabwe era balina ebiwandiiko byonna okuli ebyapa, ebiraga nti ettaka likyali lyabwe.
Kigambibwa Sobbi, yabadde akulembeddemu akabinja k’abantu okuva mu Kisenyi – Kampala, ne badda mu kutematema emmere, okwonoona ebintu, ebizimbe, ekyavuddeko abatuuze okutabuka ssaako n’abaana b’omugenzi Kibi, okubalumba nga n’abo bakutte ejjambiya, amayinja n’emiggo.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Katonga, Majid Karim, Sobbi yattiddwa nga yatemeddwa ebiso ku mutwe, obulago ssaako n’amagulu era yakubiddwa nnyo emiggo ye ne banne.
Olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, omubiri gwa Sobbi gwaleeteddwa mu makaage ku kyalo Watuba ekisangibwa mu Kasangati Town Kaanso mu disitulikiti y’e Wakiso.
Wabula muwala w’omugenzi Nabakiibi Anita asabye Poliisi okunoonyereza okuzuula abasse kitaawe.
Nabakiibi agamba nti Sobbi abadde alina omukwano eri famire ye, abatuuze era abadde muntu wanjawulo nnyo ku kyalo.
Agamba wadde yaliko omubbi, abadde abadde yabivaako dda.
Sobbi abadde yalangirira dda nti omwaka 2026, agenda kwesimbawo ku bwa loodi meeya bwa Kampala mbu okudda mu bigere bya Ssalongo Erias Lukwago.