Poliisi mu bitundu bye Kiira ekutte Omukyala w’olubuto Faridah Namugera ne bba Michael Ngobi ku misango gy’okutambuza obulimba.
Okunoonyereza kulaga nti Ngobi nga mutuuze ku kyalo Buwagi cell e Budondo Ward mu kibuga Jinja, yatwala omusango ku Poliisi nti mukyala we Namugera yali awambiddwa abantu abatamanyiddwa bwe yali agenze mu ddwaaliro lya Budondo health center IV nga 3, January, 2024, okunywa eddagala kuba ali lubuto.
Ngobi yategeeza nti Namugera yatwalibwa abasajja abaali mu mmotoka ekika kya Noah nga bulaaka nga yatwaliddwa mu kifo ekitamanyiddwa.
Ku Poliisi, era Ngobi agamba nti mukyala we Namugera yatwalibwa ku kyalo Jami mu disitulikiti y’e Budaka mu maka agatamanyiddwa.
Abantu abamutwala, baali beyambisa essimu ya mukyala we, okusaba ssente, obukadde 2.
Wabula Poliisi mu kunoonyereza, yazuula nti omukyala Namugera yali yalinnya Takisi ku siteegi ya Amber court mu kibuga Jinja kyokka oluvanyuma yalinya Pikipiki eyamutwala mu bitundu bye Jinja – Iganga.
Poliisi okufuna amawulire ag’enjawulo, yasalawo okweyambisa Tekinologye okulondoola essimu z’omukyala Namugera ne bazuula nti yali ku kyalo Namulesa mu Northern division mu kibuga Jinja.
James Mubi, Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira agamba nti omukyala Namugera yazuuliddwa mu maka ga mukwano gwe ku kyalo Namulesa ku Lwokuna ekiro.