Emmundu 9 zezizuuliddwa mu bitundu bye Kalamoja mu bbanga lya wiiki emu, mu bikwekweto ebikoleddwa ebitongole ebikuuma ddembe.
Ebikwekweto bino byatandika okuva nga 30.December,2023 okutuuka nga 5.January.2024.
Abantu 42 bebakwaatiddwa mu bikwekweto bino ebyatuumibwa Usalama kwa woote.
Amasasi 8 gegazuuliddwa mu bakwata mmundu bano, Ente 27 zeezinunuddwa mu mikono emikyamu, saako Embuzi n’endiga 47.
Abakwatiddwa bonna tebannatwalibwa mu mbuga z’amateeka okuwerennemba n’emisango egitali gimu, olwa kkooti okuba nga zikyali mu luwummula.
Okuva ebikwekweeto bino lwebyatandika mu July wa 2021, e Mmundu 1092, Amasasi 7,483, Ensolo omuli Ente , Embuzi, Endiga n’ebirala ziri 41,158 byebyakazuulwa UPDF okuva mu bakaramoja abakyamu.
Abalwanyi 28,093 bebaakakwatibwa ,ku bano 1487 bebatwalibwa mu kooti eziwozesa abantu ba bulijjo, ate abalala 1,512 baasalirwa emisango.
Akolanga omwogezi w’egye lya UPDF ekibinja ekyokusatu Maj Moses Amuya, agambye nti ebikwekweto bino tebinnaggwa, olw’emmundu empitirivu ezikyali mu balwanyi abakalamojaabakyatigomya bannabwe nga bababbako ensolo.