Mu kiseera nga bangi ku bannayuganda banoonya Kapito, okutandikawo emirimu, nate ekitongole ekya Poliisi, ekirangiridde ssente obukadde 20 ku muntu yenna ayinza okubatuusa ku mutemu, eyakoze obulumbaganyi ku Pasita Aloysius Bugingo ow’ekkanisa ya The House of Prayer Ministries International Makerere, Kikoni mu Kampala n’okutta omukuumi we Kopolo Muhumuza Richard.
Abatemu baakubye emmotoka ya Pasita Bugingo e Namungoona, mu Divizoni y’e Rubaga mu Kampala ku nkulungo y’e Bwalakata wiiki ewedde ku Lwokubiri ekiro nga 2, Janwali, 2024, era omukuumi Muhumuza yafiiriddewo.
Wabula bangi ku bannayuganda bakyebuuza engeri Pasita Bugingo gye yasimatukka amasasi, Muhumuza engeri gye yatibwamu era bangi balowooza waliwo akazannyo akali mu kuzannyibwa.
Embeera eyo, yeewaliriza ekitongole ekikola okunoonyereza okw’enjawulo ekya Special Investigations Division e Kibuli, okuyingira mu nsonga ezo okunoonyereza okuzuula ekituufu.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, ssente obukadde 20 zigenda kuweebwa, omuntu yenna ayinza okubatuusa ku mutemu.
Mungeri y’emu Enanga agamba nti mu kunoonyereza, kulaga nti emmundu ekika kya Pisito eyakozesebwa mu kulumba Pasita Bugingo n’okutta omukuumi we Muhumuza, eraga nti y’emu eyakozesebwa mu kutta Ibrahim Tusubira eyali amanyikiddwa nga Isma Olaxes, eyattibwa mu Gwomutaano, 2023.
Enanga awanjagidde bannayuganda okuleka ebitongole byokwerinda mu kunoonyereza okusinga okumala gatambuza ebigambo.