Mutabani wa Bobi Wine Solomon Kampala abasing ekitone ky’okudduka emisinde basinze kukimulabamu ng’amaliriza siniya eyookuna.
Solomon eky’okufuka omudusi w’embiro ennyimpi akikwasizza maanyi era kuviira ddala e Uganda ng’alabibwako ng’ayambuka obusozi obw’enjawulo n’ebisaawe ng’ali ne banne.
Kitaawe singa yali tamwagaliza kutumbula kitone kye singa yamugaana dda okuddamu okudduka kyokka ate olw’okuba amwagaliza nnyo yagenda ne mu America Solomon gy’asomera kati ng’ali wamu ne Barbie okuwagira mutabani waabwe ng’adduka.