Amawulire

Balabuddwa ku kulundira ebisolo ku kkubo.

Abalunzi b’ente n’ebisol ebirala mu bitundu by’e Butambala ne Gomba balabudwa nga bwe bigenda okuwambibwa olw’okubirundira ku makubo. Ssentebe wa Disitulikiti y’e Gomba, Geoffrey Kiviri Tumwehe yeerayiridde nga bw’agenda okukola ekikwekweto ku nte ze balundiira ku luguudo oluvannyuma lwa baddereeva okwemulugunya ku bulabe bwe boolekedde singa bannannyini bisolo tebakikomya. Baddereeva bagamba nti kino kyongera obubenje kubanga abavuzi b’ebidduka babyekanga nga bali ku lugguddo. Ssentebe Kiviri yaganbye nti kikyamu omulunzi okusiba ebisolo ku kkubo nga bagezezzaako okusomesa abantu abalina ebisolo naye bangi tebeefirayo. Yalabudde abakyalina omuze guno okukikomya mu bwangu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top