Omukazi owookuna asangiddwa mu nnyumba ye ng’attiddwa e Ssembabule, mu kitundu kye kimu ne we battira absatu abaasooka. Masituula Nabasirye 32, nga yava mu kitundu ky’e Lukaya abadde abeera mu Market zzoni, yasangiddwa ng’attidwa mu kiro ekyakeesezza olwokuna. Omulambo gwe gwasangidwa ng’attiddwa mu kiro ekyakeesezza Olwokuna. Omulambo gwe gwasangiddwa ku buliri bwe. Poliisi yatuuse mu kifo kino n’ebwa yaayo ekonga olusu kyoka tebalina gwe baakutte. RDC w’ekitundu kino, Jane Francis Kaggayi yatuuse awaabadde obutemu n’aggalawo amayumba agali okumpi n’obutemu we bwabadde. Yalagidde nnannyinigo eyakazibwako erya Maaso akwatibwe wamu n’abakazi ababadde babeerako ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. Kaggayi yagambye nti mwennyamivu olw’ettemu erisusse mu kitundu kino n’agamba nti bagenda kutuula mu lukiiko lw’ebyokwerinda n’abakulu ababasingako balabe ekyokukola, ebikwekweto okulaba nga bamalawo obuzibu buno.