Amawulire

Bamunoonya lwa bubbi.

Poliisi mu disitulikiti y’e Mayuge enoonya omusajja ateeberezebwa okubeera mu myaka 32, nga kigambibwa nti yabbye ebintu okuva mu madduka abiri wamu ne saluuni. Poliisi gw’enoonya yategeerekesseko erinnya limu erya Issa, nga bagamba nti abadde ku y’e Malongo mu disitulikiti y’e Mayuge. Eno yamenye edduuka lya Betty Kawala ne Nicolas Muwanda ate n’atwala ebintu bya saluuni ya Rashid Magulu. Stephen Muwanguzi, ssentebe w’ekyalo kino agamba nti oluvannyuma lw’abatuuze be okubibwa, beekozeemu omulimu ne batwala embwa za poliisi ezikonga olusu ezaasibidde ku nnyumba ya Issa, wabula tebaamusanzeewo. Yagambye nti batandise okumunoonya kyokka nga tannaba kuzuulibwa. Muwanguzi agamba nti obumenyi bw’amateeka bweyongedde mu kitundu kyabwe n’asaba poliisi okubataasa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top