Agunda James ow’emyaka 48 omutuuze ku kyalo Obaru cell, Ombokolo ward ku misango gy’obutemu.
Agunda yasse mukyala we Chandiru Judith myaka 23 mu kiro ku Lwokutaano ekiro nga 1, March, 2024 lwa kugaana kusinda mukwano ekiro.
Okunoonyereza kulaga nti Agunda ne Chandiru baludde nga balina obutakaanya ng’omukyala alumirizza bba obwenzi era abadde yagaana okudda okwesa empiki.
Mu kiro ku Lwokutaano, omukyala yalemesa omusajja okugikwatako era amangu ddala yava ku buliri okudda wansi ku mufaliso wadde omusajja yali mu muudu y’omukwano.
Omusajja yava mu mbeera era wakati mu kulwana n’omukyala, yamukuba mu mbiriizi, ekyavaako omukyala okugwa wansi, okutuusa lwe yafa.
Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, agamba nti oluvanyuma lw’okutta mukyala we Chandiru, omusajja yeetwala ku Poliisi ku misango gy’okutta mukyala we.
Enanga agamba nti wadde omukyala yaziikiddwa, Agunda essaawa yonna bamutwala mu kkooti ku misango gy’obutemu.