Amawulire

Omusumba awasizza mukazi we ne yetta .

Kayongo myaka 30, yesse olw’okuzuula nti mukyala we, aludde ng’asinda omukwano ne Pasita mu kkanisa gyasabira.
Kayongo, abadde mutuuze ku kyalo Kyabisire mu ggoombolola y’e Lwampanga mu disitulikiti y’e Nakasongola.
Omulambo gwe, gwalabiddwa abatuuze nga gulengejja ku muti gwa ffene.
Okusinzira ku batuuze, Kayongo n’omukyala baludde nga balina obutakaanya, ng’omusajja alumiriza omukyala okufuluuta buli kiro nga yefuula nti akooye ennyo, ate ng’emisaana, asiiba ne Pasita mu kusinda omukwano nga yefuula agoba emizimu.
Kigambibwa, omusajja yasabye omukyala okwewala okudda mu kkanisa wabula olw’ekirungo kya Pasita n’ebisoko wakati mu kwesa empiki, omukyala yagaanye okuwulira okusaba kwa bba.
Kayongo, olw’akizudde nti Pasita asukkulumye, ensumika era essaawa yonna omukyala agenda kunoba, kwekusangibwa nga yetugidde ku muti gwa ffene.
Sam Twiineamaziima, omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula byonna ebyavudde Kayongo okwetta ku myaka emito.
Twiineamaziima awanjagidde abatuuze abalina amawulire agayinza okuyamba mu kunoonyereza okuvaayo okuyamba ku Poliisi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top