MUBUGANDA abakyala buli mwaka batekateeka tabamiruka wabwe era ono akulilwamu nabagereka yennyini era nayambibwako oyo yenna gwaba alonze okumuyambako kuluno yalonze Minisita wa Bulungibwansi, Obutonde Bw’ensi Amazzi n’Ekikula y’Abantu ne Wofiisi ya Nnaabagereka, Owek. Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, atongozza enteekateeka za Ttabamiluka w’ Abakyala mu Buganda ow’omwaka 2024 ng’ono agenda kubeera mu Lubiri e Mmengo.
Owek. Mayanja Nkalubo enteekateeka zino azitongoleza mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu nategeeza nti Ttabamiruka ono wakubaawo omwezi ogujja nga 15 era Nnaabagereka Sylvia Naginda yagenda okumugulawo.
Minisita Nkalubo annyonnyodde nti Ttabamiruka ono wakuyindira wansi w’ omulamwa ogugamba nti, ‘Abakyala bankizo mu nkulaakulana eyanamaddala’ nga mukino essira lyakuteekebwa ku makubo ag’enjawulo abakyala gebasobola okufunamu ensimbi n’okwekulaakulanya.
Mu kino bano bagenda kubangulwa ku ngeri gyebasobola okufuna ensimbi za gavumenti, okusomesebwa ku misolo, enkola eya Yinsuwa, enkuza y’omwana omulenzi, enyingiza mu maka saako n’ensonga endala nnyingi.Owek. Nkalubo ategeezeza nga Ttabamiruka ono bwagenda okwetabwamu abakugu mu by’obulamu, ebyenfuna, amateeka, aba Yinsuwa nabalala bangi era nga kkaadi zakugulwa ku mitwalo 4 gyokka buli emu.
Ono era akunze bannamikago abenjawulo, omuli ebibiina by’abakyala nabakwatibwako ensonga z’abakyala okwetaba mu nteekateeka za Ttabamiruka ono okusobola okubayambako mu lugendo lw’ enkulaakulana.
Ssentebe wa Ttabamiruka ono, Dr. Sarah Nkonge Muwonge asabye abakyala okugula kkaadi zino nga bukyali nokwetaba mu Ttabamiruka w’omwaka guno okusobola okubaako byebayiga nokutumbula embeera zabwe.
Dr. Nkonge annyonnyodde nti okuyita mu nteekateeka eno abakyala bakwongera okumanya engeri obuwangwa gyebusobola okukozesebwa okutumbula eddembe lyabwe.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu abantu abenjawulo okuli Owek. Robina Magezi,Omukungu Agnes Nabulya Nkugwa, omukungu Agnes Kimbugwe nabalala bangi.