Amawulire

EBYAMA LWAKI NRM YAWANGUDDE DDA AKA 2026- FARUK KIRUNDA

EBYAMA LWAKI NRM YAWANGUDDE DDA AK 2026- FARUK KIRUNDA
MUNAMAWULIRE w’ensonga z’obwa pulezident omukukunavu Faruk Kirunda akakasiza ddala nti ab’oludda oluvuganya mu Uganda balina kyebayigira ddala kubyafayookuviira ddala mu1996, 2001, 2011, 2016, 2021 nate tugenda mukalulu ka 2026 bonna amannyi bagatadde ku pulezidenti mu7 mbu aweyo obuyinza ekirabika nti tekigenda kusoboka mu kiseera kino nga banayuganda abasing nga bakyayagala agende mumaaso n’okukulembera egwanga kubanga balaba akyasobola era yalina vision. Era nga tasobola kwesiga bamuvuganya bakwasa gwanga nga tebalina kigendererwa.
Ebigenda mumaaso mukiseera kino mubibina by’ebyobufuzi ebiri kuluda oluvuganya nga FDC, NUP biragirawo nti ebiseera byabyo eby’omumaso sibitangavu amannyi bonna bagatadde mukwelwanyisa munda nga tebamanyi nti okudukanya obulungi ekibiina ky’ebyobufuzi ne’kibeera kitambulira kumulamwa ogwakitandisawo nabwo bubeera buwanguzi naye bo batunulira kalulu koka kebagenda n’okulemerelw okutekawo okuvuganya okw’omugundu ne NRM.
LWAKI EBYA FDC BIKABYA AMAZIGA.?
Kirunda ayongera okutanya lwaki fdc evuuya mukaseera kano era nga ekyatambulira mukisikirize kyeyali pulezident wakyo Maj. Gen. Mugish Muntu eyasalawo okubabulira natandiika ekibiina ekirala ekya ANTI. Yagenda n’ebikonge bingi okuva mu FDC era ono yaleka abalalise nti essawa yonna mbega omutufu atawanya ekibiina kyabwe nabalemesa okutwala obuyinza agenda kweyoleka olwo ye yejjerere kubanga bbo bali bakimutekako mbu mbega
Mu 2023 ekiseera ekituufu Maj. Gen. mugish muntu kyeyalagula kyatukirila era wanno Dr. kizza Besigye ewyakwatira FDC kkaadi mukalulu kokuvuganya kubwapulezident bwa Uganda emirundi egiwerako nalumiriza banne okwali pulezident wa FDC kati aliko Aboi wamu ne sabawandiisi wakyo mafabinga bwebalina kyebamanyi ku bbaasa omwali ssente ezabawebwa yayaasa ebyama bingi omwali n’ensonga ezaamugana okunonyeza Oboi akalulu kino kyaletera ekibiina okukola obubi ennyo NUP ekibiina ekipya ekyali kyakajja nekibayisako eggali wadde sente yekibi Dr. Besigye zeyayogerako nti banne bazilya embeera eno yonna eriwo mukaseera kano ekakasa nti FDC kwekutulamu kyekatonga kikole ekibiina ky’ebyobufuzi ekirala nga kino kigenda kwongera obutakwatagana wakati wabawagizi webiwayi byombi era bakusigala balwanagana nga bwebakoze kumukolo gwokuzika abadde munakibiina kyabwe omugundivu e Teso abadde Sarah Eperu eyafudde gyebuvuddeko.
Obusungu mu FDC bweyongera buli olukya nga abakulembeeze bewereza ebisongovu n’okwanika obuziina bwabwe nga batandiika dda okwejjusa lwaki begatta ku FDC.
KIKIEKINABAAAWO MU 2026?
Ekisuubirwa okubawo mu 2026 nti abawagizi abatono FDC besigaza nabo bagenda kweyongera okwekutulamu abamu bawagire muntu, abalala besigye ate abandi amuriati olwo NRM eyisemujjenje kalu nga ewangula akalulu.
MU NUP NAYO KITOKOTA SI KISANIKIRE
ABAWAGIZI BEKIBIINA kino beekutuddemu dda nga abamu bawagira pulincipo ate abalala bawagira mpuuga . kino kiddiridde palamenti okuyisa akasiimo eri bakamisona okwali ne Mpuuga eke milyoni ebitano zeyamuwa bwadde ye agamba tanazikwatakop era azilindiridde.
Singa abakulembeze abensonga tebayingirawo mubwangu ne bayambako okukulemberamu okwogerezeganya wakati wa Mpuuga awagirwa ennyo banabyabufuzi abasoma abambala amasuutine Bobi wine awagirwa ennyo abantubabulijjo emikisa mingi nti NUP EGENDA KWEYUZAMU mukiseera mwekibadde kirina okusimbira emilandira mubyalo n’okwetegekera akalulu kano akabindabinda aka 2026.emikago ne’bisinde bingi bikoleddwa ebibiina byebyobufuzi wanno mugwanga naddala nga ekiseera kyakalulu kisembereredde wabula nga nze ndabulilawo banayuganda nti kyandibadde kirungi kuluno nebalabuka mangu okwegata ku kibina ekiwanguzi era ekinabatuusa mubesimiokusobola okutwala egwanga lyaffe mumaso nga pulezident Museveni yatukulembedde kibawonye n’okwejuusanga okuwagira opposition ate netabayamba.

?

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top