Amawulire

Aba B2C bakiikkidde Bebe Cool ensingo.

Bebe Cool yavuddeyo n’afulumya olukalala lw’abayimbi abasinze okukolera ddala obulungi omwaka oguwedde .

Kuno kwe kwabadde Alien Skin, Vinka , Dax Vibes , Uga Boys , King Saha , Eddy Kenzo , Crysto Panda n’abalala .

Wano abayimbi ba B2C we baviiriddeyo  ne bamwambalira nga bamulangira okweyagaliza n’okwagala ennyo amawulire.

Richard Mugisha amanyiddwa nga Mr. Lee ye yasoose okuvaay okwambalira Bebe n’amulangira obutaba na luyimba omwaka oguwedde.

Ono yagambye nti Bebe Cool takyayimba era alina oluyimba lumu lw’afulumya buli mwaka nga luno alutuuma “Bebe Cool List”.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top