Amawulire

Aba DPbasabye abébyókwerinda okweyambisa obukesi mu kukendezza obutujju.

 

Ekibiina ekiri kuludda oluvuganya gavumenti ekya Democratic Party kisabye ebitongole by’ebyokwerinda okukozesa obukessi bwabyo okuzuula abatujju nga tebannaba kukola bulumbaganyi ku ggwanga

Omulanga gwa DP poliisi okutegulula boomu ku lunaku lwe Sunday ku kanisa y’Omusumba Kayanja e Rubaga ate eggulo poliisi yateguludde bbomu endala bbiri mu bitundu by’e Bunamwaya ne Nateete mu Kampala.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi z’ekibiina kino mu Kampala, pulezidenti w’ekiwayi ky’abavubuka mu DP, Ismael Kirya asiimye poliisi olw’okukola amangu ekikolwa ekyawonyezza abantu wabula yeebuuzizza lwaki ebitongole by’ebyokwerinda tebisobola kutegeera nteekateeka za batujju bano nga tebanatega boomu zino

Ategeezezza nti ensonga lwaki ebyokwerinda biweebwa Bajeti ey’ekyama kwe kuteeka ssente mu byokwerinda ebya buli ngeri ebisobola okuzuula omuntu alina enteekateeka z’okukola ebikolobero eby’engeri eno.

Kirya alaze obwennyamivu nti ab’ebyokwerinda bya Uganda bulijjo bafuna mangu amawulire ku enteekateeka z’abakulembeze b’oludda oluvuganya okusinga abatujju abajja okutta abantu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top