Ssettendekero wa Muteesa I Royal University yayingidde omukago n’eggwanga lya Iran okugabana amagezi ku nsonga za Tekinologiya, Ennono awamu n’ebyenjigiriza okwongera okulaakulanya abantu mu bitundu byombi.
Ekyama kino kyabotoddwa amyuka Cansala wa Muteesa I, Prof. Vincent Kakembo bweyabadde yeetabye ku mukolo gw’okujjukira emyaka 33 bukya eyali omukulembeze wa Iran, Imam Sayyid Ruhollah Musavi Khomenei yava mu bulamu bw’ensi e Kakeeka Mmengo ku Lwokuna.
Okujjukira omukulu ono wategekeddwawo omusomo okwefumintiriza ku birungi byeyakolera ensi ye nga wano Ambasada wa Iran mu Uganda, H.E Mahdi Salehi weyasinzidde nategeeza nti kikola amakulu mangi omukulembeze bwakwatagana n’abantu bakulembera era wano wewava enkulaakulana ya Iran.
Ambasada Mahdi Salehi yannyonnyodde nti enkwatagana eno nkulu nnyo mu kiseera kino nga Uganda eyagala okusima amafuta gaayo yeekulaakulanye.
Amyuka Cansala wa Muteesa 1, Prof. Vincent Kakembo yatubuulidde nti babanzeewo omukago ne ggwanga lya Iran okusobola okuwanyisiganya amagezi ku nsonga ezitali zimu mu bya tekinologiya, obusawo, nenkulaakulana mu bayizi nabasomesa.
Kinajjukirwa nti Imam Sayyid Ruhollah Musavi Khamenei ye mukulembeze w’eddiini era omukulembeze wa Iran eyasooka nga yamanyibwa nnyo nga Ayatollah Khomenei nga yafa mu 1989 nga kati gyemyaka 33.
Ayatollah yayatiikirira nnyo olw’okulwanirira eddembe ly’obuntu , okunyikizza eddiini y’obusiraamu mu Iran awamu n’okulaakulanya ensi ye.