Amawulire

Aba NRM batabukidde Ronald Mayinja ku luyimba lwe yafulumizza.

Abawagizi ba NRM balumbye Ronald Mayinja ku luyimba lwe yafulumizza n’alutuuma “Abantu baagaanye”, ne bagamba nti, “Mayinja alabika enjala y’emuluma!”

Mu luyimba luno, Mayinja alaga nti atalaaze ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo ng’akunga abantu okuwagira Muzeeyi (Pulezidenti Museveni) wabula nti abantu ne bagaana obubaka obwo, nga baagala beerondere Pulezidenti omulala.

Kigambibwa nti Mayinja by’abadde ayitamu okuli n’okwawukana n’abantu b’aludde ng’akolagana nabo, kye kyamuwalirizza okukuba oluyimba luno mw’agambira nti, yali muganzi nnyo mu bantu, naye bwe yatandika okutambuza obubaka bwa Muzeeyi, ne bamukyawa!

Oluyimba lujjidde mu kiseera nga Mesach Ssemakula yaakamala okwabulira Golden Band. Oluyimba Mayinja yalufulumizza nga yaakamala okuggyayo empapula ez’okwesimbawo okukiikirira bbandi ku lukiiko olukulembera ekibiina ekigatta abayimbi ekya Uganda Musicians Association (UMA).

Kigambibwa nti yasangiddwa alina obutali bumativu n’abamu ku bakulu mu NRM nga kigambibwa nti okuva akalulu ka 2021 lwe kaggwa, tebaddamu kumuteeka ku mwanjo era n’emikolo gy’okukuza amazaalibwa ga Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba teyagibaddeko.

Oluvannyuma lw’okufulumya oluyimba luno olukolokota gavumenti ne Pulezidenti, bakkaada ba NRM bangi baamutabukidde nga bagamba nti anoonya kulya ssente za gavumenti nga “yeetega”, Pulezidenti Museveni asobole okumuyita amubuulire by’ayagala Pulezidenti okumukolera okubeera omumativu.

Balaam amuwadde amagezi adde e Gomba alime ntagawuuzi

Balaam Barugahara

Balaam Barugahara omuwagizi wa NRM yagambye nti oluyimba lwa Mayinja terubeewuunyisa kubanga Mayinja gwe bamanyi y’oyo akyukakyuka buli kiseera.

Yagasseeko nti: Mayinja eyakuba “Tuli ku bunkenke” ate ye yakuba “Muzeeyi akalulu” era tusobola n’okukeera enkya ng’akubye olukontana n’olwo lwe yayimbye.

Yeebuuzizza Mayinja gye yasanze abantu b’ayogerako nti bamugambye bakooye Museveni nti kubanga tannamulabako ng’akubye olukung’aana nga yeebuuza ku bantu; n’awunzika nti njala y’eruma Mayinja era anoonya kyakulya.

Balaam yagambye nti ebizibu bya Mayinja bwe biba bya ssente, byangu okukolako era n’amusindika ewa Jeniffer Nakanguubi (Full Figure) omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga za Kampala, y’aba amukolako era bwe kimulema addeyo e Gomba alime entangawuuzi kubanga zibalayo.

Mayinja alemye okwezuula – Full Figure

Full Figure

Full Figure naye yalumbye Mayinja n’agamba nti ekizibu kye, yalemwa okwezuula n’okwawula ekimuyamba n’ekitamuyamba. Nti era y’ensonga lwaki atagalatagala n’ava mu NRM n’adda mu NUP ate n’ava mu NUP n’adda mu NRM.

Yagasseeko nti waliwo akabinja akakozesa abantu ab’enjawulo okufuna ssente okuva ewa Pulezidenti Museveni era ateebereza nti Mayinja ayinza okuba yakozeseddwa akabinja ako, kamufunireko ensimbi.

Yalambuludde nti okumanya Mayinja agoba ssente ng’akozesebwa akabinja ako, yayogedde ku musika mu luyimba lwe, kyokka nga Museveni tavangayo kulaga muntu yenna nti alina omusika yenna gw’ataddewo.

Full Figure yawadde Mayinja amagezi okuva ku byobufuzi akole ebirala n’okuwa ffamire ye obudde, kubanga ebyobufuzi byongera kumwanika.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top