Amawulire

Aba Nup balabudde ku kabi akanaava mu kibba bululu.

BYA VICKY NAKATE.

Omubaka omukyala owa disitulikiti ya  Wakiso Betty Ethel Naluyima  (NUP) alabudde gavumenti NRM okukomya okukaabya banna Uganda mu buli kulonda bwekubeera wo kubanga  kigenda kuvirako banna Uganda okwekyawa batandike okukola ebikolwa  eby’obukyaayi nga obuzibu buvamu kubasibako bantu bebatelondedde

Naluyima agambye nti banna Uganda bakooye okukulemberwa abantu bebasibako nga sibabelondedde  nti omuzze guno gugenda gukula  okuva mu kalulu kabona akawedde banna Uganda  bakyalina enyike ku mutima olw’okufuna obukulembeze bwa wagulu bwebagamba nti sibebabulonda bo balonda muntu mulala nga ye Bobi Wine  kyoka ate nebitundu ebilala nga eKayunga  okulonda gyekuddidwamu era ebikolwa byebimu eby’okuba akalulu byalabikidw Andrew Muwango owa NRM bweyakangikoddwa ku buwanguzi bwa Ssentebe wa LC5 nabba Harriet Nakwadde owa NUP  ekintu kyagambye nti kigenda  kuvaako akatabanguko mu ggwanga olwa banna Uganda okutadika okubanja abakulembeze bebelondera bakooye ekibba bululu nasaba abakwatibwako ku nsonga eno betereze nga egwnga terinavaako ktabanguko.
Binon Naluyima abyogeredde  Namugongo bwabadde agalawo empaka z’omupiira ezategekeddwa kkansala Sikuzan Lwanga akikilira Kyaliwajja ku Municioality e Kira nga akabonero akokwebaza abalonzi abababereddewo nebabalonda mu bifo eby’enjawulo.
Sikuzana Lwanga omutegesi asabye gavunenti okwongera okuteeka ensimbi mu byemizannyo kubanga ebyemizannyo abantu bagi bafuniddemu obugagga nebakulakulana nasba gavunenti erekere awo okuteeka ssente mu bintu ebitagasa .
Tiimu empaguzi ziwangudde ebirabo  eby’enjawulo okuli kimeme w’embuzi , amabaasa nemidaali .
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top