Amawulire

Aba NUP balemeseddwa okulaba omubaka Allan Ssewanyana mu kkomera.

Ababaka ba parliament ab’oludda oluvuganya government nga bakulembeddwamu abakulira Mathias Mpuuga Nsamba balambudde ku bannaabwe Allan Ssewannyana ne Muhammad Ssegiriinya mu kkomera e Kigo.

Wabula tebakkiriziddwa kulaba ku mubaka Allan Ssewannyana, bategezezza nti Ssewannyana yennyini yawadde abaddukanya ekkomera ly’e Kigo ebiragiro okugaana omuntu yenna okumulaba.

Wabula Mathias Mpuuga kino takikkirizza kubanga Allan gwamanyi tayinza kugaana bantu kumulambula naddala abalafuubana okumuggya mu kkomera.

“Abaserikale batutegeezezza nti Hon Ssewannyana yagaanye abaagala okumulaba, mbu era teyagaanye ffe ffekka, wabula ne maama we ne mukyala we”

Mpuuga ategeezezza nti Sseggiriinya gwebalabyeko abategeezezza nti munne, Ssewannyana tali mu mbeera nnungi nga yeetaaga kuwanirirwa okutambula.

Ababaka bennyamidde olw’abakulu mu kkomera gyebagaanyeemu okussa ekitiibwa mu kiragiro kya kkooti, okukkiriza ababaka okutwalibwa mu malwaliro bafune obujjanjabi obusaanidde.

Gyebuvuddeko kkooti enkulu e Masaka ey yagaana kubanga oludda lwa gavumenti lwali terweteeseteese.

Jjuuzi essiga eddamuzi bweryabadde liggulawo omwaka gw’ebyamateeka, Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo yategeezezza nti okuwulira omusango gw’ababaka bano kwakutandika mu April w’omwaka guno.

Bano bamaze mu kkomera ebbanga erisoba mu mwaka nga baggulwako emisango okuli obutemu n’obutujju nga byonna byava ku mbeera y’ekitta bantu eyacaaka ennyo mu bitundu by’ebbendobendo ly’e Masaka mu mwaka gwa 2021.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top