Amawulire

Aba NUP batabukidde mu kooti.

Bannakibiina kya NUP 32 abamaze ku alimanda emyaka 2, basabye omulamuzi wa kooti y’amagye e Makindye abasalire mu kifo ky’okubaleeta mu kooti buli kadde nga tebasalirwa.

Abasibe bano bategezezza ssentebe wa kooti y’ekinnamagye Brig. Gen  Freeman Robert Mugabe nti tebalina musango gwa ssimba okuggyako okubasibira olw’ebyobufuzi, nebamusaba abasalire lumu ekibonerezo mu kifo ky’okubazunza mu kooti.

Abavubuka bano baakwatibwa mu mwezi gwa  May 2021, nebasindikibwa ku alimanda mu komera e Kitalya, nga balangibwa okubeera n’ebyambalo ebyefanaanyiriza eby’amagye.

Abasibe bwebaleeteddwa mu kooti,  Maj  Elly Ekyaruhanga akulembeddemu oludda oluwaabi ategezezza kooti nti abajulizi mu musango guno babadde tebazze mu kooti, nga n’olwekyo kooti ebadde tesobola kugenda mu maaso nakuwulira musango.

Kino kitabudde Nurdiin Kakooza omu ku basibe naava mu mbeera, ng’agamba nti bakooye okubazunza mu kooti emyaka 2, nga tebabasalira.

 

Abasirikale balabye Kakooza ataamye nebamusikambula mu kaguli, nebamutwala nga talinnya.

Oluvannyuma lw’ebyo ssentebe wa kooti   Brig Gen Freeman Robert Mugabe alagidde nti abawawabirwa bazzibwe mu kooti nga   21st February, 2023 ng’enjuuyi zombi zetereezezza.

Guno omulundi gwa kubiri nga  Kakooza atabukira mu kooti, ng’ogwasooka, Lt. Gen Andrew Gutti mu biseera ebyo yeyali akulira kooti y’amagye, era Gutti kwolwo yalagira Kakooza atwalibwe akeberebwe omutwe.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top