Amawulire

Aba Old Mutual investment group batongozza enkola empya ey’okusigamu ensimbi mu Uganda eyitibwa “Dolla Unit Fund.”

Enkola eno esobozesa musiga nsimbi yenna okuteeka ensimbi awamu ne bamusigansimbi banne era nezisigibwa mu biyingiza ensimbi nga emigabo n’ebirala. Nga ekigendererwa mu kino kwe kugaziya ntereka y’ensimbi essingako nga ku bamusigansimbi ssekinnoomu tebasobola kutuukako.

“Old Mutual Investment obutafaana nga zino ezigenda ziwera mu Uganda, yo yesigika mu bumanyirivu bwayo mu kuteleka ensimbi wamu ne likodi yaayo emanyiddwa mu kuddukanya eby’okusiga ensimbi era kino kikuwa obuvumu okujeesiga mu by’ensimbi bwoba waakutereka nsimbi ebbanga eriwera” bwatyo Prof. Samuel Sejjaaka Ssenkulu wolukiiko olufuga kkampuni eno bweyatangaazizza.

Okutongoza Dolla Unit Fund, bano bamalawo bwetaavu bwabantu obweyongera ensangi zino mu kusiga ensimbi mu Ggwanga. Enkola eno entogozeddwa yakuwa bamusigansimbi abaawano obusobozi bw’okufuna amagoba agasinga ku nsimbi zaabwe.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top