Amawulire

Aba Shincheonji Church of Jesus bewaddeyo okulwanyisa ebbula ly’omusaayi.

Ab’e South Korea bali ku kaweefube waakulwanyisa bbula ly’omusaayi mu malwaliro okusobola okutaasa obulamu bw’abantu.

Kino kivudde ku mbeera eyaleetebwa ekirwadde kya Covid-19 ne kiteekawo embeera eviirako abantu okugaba omusaayi basobole okugufuna mu bungi obwetaagisa.

Okusinziira ku kitongole kya Red Cross, abantu abasinga okwetaaga okuwa omusaayi kuliko abalongoosebwa, abakyala abazaala, abalwadde ba kookolo n’abantu abalala abafunye endwadde ezimalamu omusaayi.

Wano ab’ekibiina ky’obwannakyewa ekiri ku mutendera gw’ensi yonna ekya Heavenly Culture, World Peace and Restoration of Light (HWPL) we basinzidde okukunga bammemba babwe okugaba omusaayi.

Bakwatidde wamu n’aba Shincheonji Church of Jesus ne bakunga bamemba babwe 18,000 okuwaayo omusaayi okumala wiiki bbiri baatandise April 18, era bagamba nti guno gwe muwendo gw’abantu ogukyasinze obunene okugaba omusaayi mu ggwanga lyabwe.

Abavubuka nga balaga satifikeeti kwe baagabidde omusaayi

Namsun Cho, akulira Korean Red Cross Blood Services yagambye nti akawuka ka Omicron wekaasattiriza ennyo ensi, aba Shincheonji Church of Jesus ne batongoza kaweefube okugaba omusaayi. Yabeebazizza olwa kaweefube ono.

“Twongera okwebaza bammemba ba Shincheonji Church of Jesus abadduukirira kaweefube w’okulwanyisa COVID-19 mu 2020,” bwe yeebazizza.

Eggwanga lya South Korea abagabye omusaayi babawa satifikeeti era abetaaga omusaayi nga gwa kusasulira basobola okuwaayo satifikeeti eno n’ebataasa.

Ekitebe kya Shincheonji Church of Jesus, kisangibwa Gwacheon, South Korea, era baddiza abantu mu ngeri ez’enjawulo mu ngeri ey’obwannakyewa.

Ate HWPL, ekitebe kyabwe kiri mu kibuga Seoul, South Korea, kibiina kya bwannakyewa ekikolagana n’ekibiina ky’amawanga amagatte okubunjisa enteekateeka z’okunyweza emirembe mu nsi kati bakola mu mawanga 193.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top