JANET Museveni, mukyala wa Pulezidenti era nga ye minisita w’ebyenjigiriza akubagizza abazadde abaafiirwa abaana mu muliro ogwakwata essomero lya Kasana Junior School e Masaka.
Mu bubaka bwe yatisse omuwandiisi mu minisitule y’ebyenjigiriza Jane Egau, yalaze okunyolwa olw’akabenje akaavaako abayizi 7 okufa n’abalala okulumizibwa nga kati bajjanjabibwa mu malwaliro ag’enjawulo.
Buli muzadde eyafiirwa omwana yaweereddwa 5,000,000/- ate abajjanjaba abaana buli omu n’amuwa 1,000,000/-.
Egau yasabye abakulira amasomero okuba abeegendereza nga bassa mu nkola ebibalagirwa okusobola okwewala obubenje nga buno.
