Amawulire

Abaakwatibwa n’ababaka Ssegiriinya ne Ssewanyana baalumiriza Poliisi.

Abamu ku bantu abakwatibwa n’ababaka Muhammed Ssegiriinya owa Kawempe  North ne  Allan Ssewanyana owa Makindye West okubapangisa batemeteme abantu e Masaka mu Buddu beewunyisizza kkooti bwebategeezezza nti ab’ebyokwerinda babatulugunya nebabakaka okuwaayiriza ababaka bano.

Bino byabadde mu kkooti enkulu e Kololo eyabadde etandise okubawozesa ku misango gy’obutujju n’ebikolwa bya bakalintalo  egigenda mu maaso nokuwulirwa.

Bano nga bakulemberwamu Kanyike Jackson bategeezezza  omulamuzi Jane Elizabeth Aldviza, nti emibiri gyabwe gyonna gijjudde enkovu naddala ku bitundu byabwe eby’ensonyi nga báyita mukutulugunyizibwa okw’amaanyi, basobole okulumiriza ababaka bano.

Omulamuzi Jane Alviza yategeezezza nti babeere bakakamu kebatuuse mu kkooti,  nti era bakuweebwa obwenkanya singa kizuulibwa nti baatulugunyizibwa bawe obujulizi obw’obulimba.

Akuliddemu abawaabi ba gavumenti  Anguzu Lino yasabye kkooti okumuwaayo ekiseera aleete obujulizi obulumiriza abantu bano.

Omulamuzi yasazeewo okumuwa olwa nga 11th August,2022  aleete obujulizi bwonna obusigalidde.

Ate bannamateeka b’ ababaka nga bakulembeddwa Erias Lukwago ne  Shamim Malende bavumiridde eneyisa y’ebitongole by’ebyokwerinda okutulugunyanga abantu nti babaggyamu bujulizi kuba kino kimenya mateeka.

Kinajjukirwa nti Ssegirinya ne Ssewanyana, bakamala ku alimanda emyezi 10, nga bavunaanibwa emisango okuli egyóbutujju, obutemu, n’egyokugezaako okutta omuntu nga balumirizibwa okupangisa abavubuka abatematema abantu mu Buddu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top