Amawulire

Abaana 2 bagudde mu kidiba nebafiiramu.

 

Abaana babiri abokukyalo Nsozibbirye mu gombolola ye Kabasanda mu district ye Butambala bagudde mu kidiba ky’amazzi nebafiiramu.

Abaana bambi bawala Nsonyiwa Zulayika abadde yakatuula P.7 ne Nampijja Hidaya owa.P.5 kitabwe ye Abdukalim Ssekitto.

Abaana babadde basatu nga babadde bagenze kutyaba nku, omu kwekuseerera n’agwa mu kidiba, olwo munne bwagezezaako okumuyamba naye kwekugwayo era bombi nebafiiramu.

Omwana omu era abadde omuto yazeeyo ewaka n’ategeeza abakulu ekiguddewo, nebadduka babataase, basanze baafudde dda.

Kitaawe w’abaana Abdukalim Ssekitto yoomu ku batuuse amangu okutaasa abaana, wabula naye aguddeyo neyerwanako n’asimattuka.

Ssentebe we kitundu kino Kamulegeya Siraje agambye nti ekidiba kino  kyamisimwa omusajja ategerekeseko erya Mugisha,wabula teyasaako lukomera.

Poliisi ye Kabasanda eyitiddwa netwala emirambo mu Ddwaliro okwekebejjebwa oluvanyuma negiweebwa abenganda.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top