Abavubuka 2 abagambibwa okwefuula abasaabaze ne bapangisa omugoba wa Bodaboda olwatuuka mu kkubo ne bamunyagako pikipiki ye baweereddwa empapula ezibasindika mu kkooti Enkulu batandike okuwerennemba n’ogwa kkondo oluvannyuma lw’oludda omuwaabi okukungaanya obujulizi mu musango guno.
Ali Ssozi 24 abeera Wakaliga mu Lubaga ne Muhammad Ssemwogerere 21 abeera Kasenge mu Wakiso nga bonna ba Bodaboda be babadde bavunaanibwa mu kkooti ya Nateete Rubaga e Mengo omusango gw’okubbisa eryanyi, omulamuzi Amon Mugezi abasindise mu kkooti enkulu ng’okunoonyereza kuwedde.
Kigambibwa nti nga 25, February 2022 ku ssaawa 10 ogw’ekiro baapangingisa Kenneth Asiimwe okuva e Nateete ku Ttaano abatwale e Kabuusu, wabula baali baakatuukawo, Ssemwogerere n’asikayo akambe n’akamufumita nga bw’amutegeeza nti yali agenda kumutta singa yali tamuwadde Pikipiki eno ekika kya TVs UFJ 943U era yatendewalirwa n’agibawa ne bakuuliita nayo.
Omuyiggo gw’abantu bano gwatandika oluvannyuma lwa Asiimwe okuloopa ku Poliisi era baakwatibwa Butambala gye baali beekukumye nga ne pikipiki baagiryamu dda ssente naye n’ezuulibwa.
Kyazuulibwa nti abavubuka bano baludde nga balina enkolagana era baakulira ku kyalo kimu e Butambala gye baava okutandika okwenyigira mu bikolwa by’obubbi.
Omulamuzi Mugezi abasindise ku limanda e Luzira kkooti enkulu gy’enaabayita batandike okwewozaako ku gw’okubba ekidduka nga bakozesa eryanyi.