Amawulire

Ababaka abaazira Palamenti bongeddwako akazito.

 

Sipiika Annet Anita Among alagidde ababaka b’oludda oluwabula gavumenti abeekandaga ne bafuluma palamenti nga bakulemberwa Mathias Mpuuga abutaddamu kukola mirimu gya palamenti wadde okutuula ku bukiiko.

Bwe yabadde akubiriza Palamenti eggulo ( Lwakusatu) yagambye nti ababaka bano bwe baba baasalawo obutateeseza bantu baabwe talaba nsonga ate lwaki beetaba mu bukiiko.

Yalagidde kalaani wa palamenti okulondoola ensonga eno okukakasa ng’okutandika n’olwaleero (Lwakusatu) tewali mubaka yenna ku beekandagga ne bava mu Palamenti addamu kutuula ku kakiiko konna.

Abeekandagga ne bafuluma Palamenti bava mu bibiina okuli; NUP, FDC, JEEMA ne DP.

Sipiika yabajjukizza nti kati ziweze entuula mukaaga nga tebalabikako n’abalabula nti bwe banaaweza entuula 15 nga tebalabikako ebinaddirira tebejjusanga.

Mu ngeri y’emu, Among yategeezezza nti waakufulumya olukalala lw’amannya g’ababaka abeefuula nti bazze ku palamenti kuteeseza bantu baabwe ate ne badda mu bukuukuulu ku lubalaza.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top