Amawulire

Ababaka ba Palamenti baagala Ssaabawolereza Kiwanuka yeetondere eggwanga.

Abamu ku babaka ba Palamenti batadde Ssaabawolereza w’eggwanga Kiryowa Kiwanuka ku nninga nga baagala yeetondere eggwanga olw’okusaagira mu bulamu bwa bannansi  awamu nokudaalira famire z’ abantu ababuzibwawo n’okutulugunyizibwa.

Ababaka bagamba nti Kiryowa Kiwanuka bweyali mu lukung’aana lw’ amawanga amagatte olw’omulundi ogwe 75 ku kutulugunya n’okutyoboola eddembe ly’obuntu  yawakanya ekya gavumenti okubeera n’ebifo mwekuumira abantu abagiwakanya ebimanyiddwa nga ‘Safe House’ n’okutulugunya bannansi nga agamba si bituufu wadde nga akimanyi nti weebiri wano.

Kiryowa Kiwanuka yategeeza akakiiko kano nga Uganda bwevumirira ennyo ebikolwa by’okutulugunya abantu n’okulinyirira eddembe ly’obuntu kubanga tebiri mu mateeka era Ssemateeka abigaanira ddala era ababikola babikola ku lwabwe.

Ssaabawolereza Kiwanuka agamba nti gavumenti ya Uganda ebonereza abo bonna abasangibwa nga  beenyigidde mu bikolwa bino era gavumenti yeemu eriyiridde  abantu abawerako kkooti bezikakasizza nti baatulugunyizibwa.

Ababaka okuli owa Bukonzo West, Atkins Katusabe nowa  Bbale,  Charles Tebandeke bagamba nti buno Kiryowa Kiwanuka asaasaanya bulimba bwenyini kuba bannayuganda bangi bafunye obuleme oluvannyuma lw’okutulugunyizibwa ate nga bangi babifiiriddemu.

Ye omubaka omukyala owa disitulikiti ye Luweero, Brenda Nabukenya yategeezezza  nga ebigambo bya Ssaabawolereza Kiwanuka bwebiraga gavumenti etakolera wadde okulumirirwa bannansi nga ebyeddembe ly’obuntu tebibakwatako.

Bino webijjidde nga  ab’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) bakyalumiriza gavumenti  bwekyakwata abawagizi babwe nga bangi  bafunye enkozi, abalala balemadde ate nga abamu balufiiriddemu.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top